17
Koseya, Kabaka eyasembayo owa Isirayiri
1 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyaka mwenda. 2 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola.
3 Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu. 4 Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera. 5 Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu. 6 Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse* Guno mulundi gwakubiri ng’Abayisirayiri mu bukiikakkono batwalibwa mu buwaŋŋanguse (laba 15:29) e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.
Isirayiri Batwalibwa mu Buwaŋŋanguse olw’Ekibi
7 Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala, 8 ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo. 9 Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe. 10 Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti. 11 Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ng’amawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza Mukama. 12 Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.” 13 Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”
14 Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe. 15 Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola.
16 Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi by’ennyana bibiri, n’empagi ey’Asera, ne basinza n’eggye lyonna ery’omu ggulu era ne basinzanga ne Baali. 17 Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala ng’ebiweebwayo mu muliro, ne bakola eby’obufumu n’eby’obulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.
18 Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.† Obwakabaka obw’omu Bukiikaddyo baali bazzukulu ba Simyoni ne Benyamini, wabula Yuda ky’ekika kyokka ekyekuuma okutambuliranga mu mateeka ga Mukama (laba 1Bk 11:31-32). 19 Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri. 20 Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge.
21 Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo. 22 Abaana ba Isirayiri ne batambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yakola, ne batabirekaayo, 23 okutuusa Mukama lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ng’ayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano.
Abayisirayiri Babeera awamu n’Abasuuli
24 Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo. 25 Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma‡ Mu biro ebyo empologoma zaali zeeyongedde obungi, olw’ekitundu ekyo okuggwaamu abantu (Lv 26:21-22) ne zitta abamu ku bo. 26 Kabaka w’e Bwasuli n’ategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda w’ensi eyo,§ Kabona oyo eyaliwo mu biseera ebyo, y’omu ku bakabona ab’ennyana eya zaabu Yerobowaamu gye yabumbisa (1Bk 12:31) kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda w’ensi kye yeetaaga.”
27 Amangwago kabaka w’e Bwasuli n’alagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.” 28 Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.
29 Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe. 30 Abasajja ab’e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab’e Kuusi ne bakola Nengali, abasajja ab’e Kamasi ne bakola Asima: 31 Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ng’ebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu. 32 Baasinzanga Mukama, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu. 33 Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga.
34 Ne leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro n’amateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri. 35 Mukama bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali. 36 Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala. 37 Naye musinzanga Mukama eyabaggya mu Misiri n’amaanyi amangi n’omukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye. 38 Temwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala. 39 Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.”
40 Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ez’edda. 41 Newaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.
*17:6 Guno mulundi gwakubiri ng’Abayisirayiri mu bukiikakkono batwalibwa mu buwaŋŋanguse (laba 15:29)
†17:18 Obwakabaka obw’omu Bukiikaddyo baali bazzukulu ba Simyoni ne Benyamini, wabula Yuda ky’ekika kyokka ekyekuuma okutambuliranga mu mateeka ga Mukama (laba 1Bk 11:31-32).
‡17:25 Mu biro ebyo empologoma zaali zeeyongedde obungi, olw’ekitundu ekyo okuggwaamu abantu (Lv 26:21-22)
§17:26 Kabona oyo eyaliwo mu biseera ebyo, y’omu ku bakabona ab’ennyana eya zaabu Yerobowaamu gye yabumbisa (1Bk 12:31)