14
Abusaalomu Akomawo e Yerusaalemi
1 Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’ategeera nga omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu. 2 Yowaabu n’atumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa, n’amugamba nti, “Weefuule akungubaga, oyambale engoye ez’okukungubaga, teweesiiga mafuta, obeere ng’omukyala amaze ennaku ennyingi ng’akungubagira omufu. 3 Genda eri kabaka, omugambe ebigambo bino.” Yowaabu n’amuwa ebigambo eby’okwogera.
4 Awo omukazi ow’e Tekowa n’agenda eri kabaka, n’avuunama amaaso ge ku ttaka, ne yeeyanza, n’ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.” 5 Kabaka n’amubuuza nti, “Nkubeere mu ki?” N’addamu nti, “Ndi nnamwandu baze yafa. 6 Nalina batabani bange babiri. Bombi baalwanira ku ttale ne wataba n’omu abataasa, omu n’atta munne. 7 Kaakano ekika kyonna kiyimukidde omuweereza wo, nga boogera nti, ‘Tuwe omusajja oyo asse muganda we, tumutte olw’obulamu bwa muganda we gwe yatta, tutte n’omusika.’ Mu ngeri eyo banaaba bazikizza etabaaza yokka gye nsigazza, obutalekaawo linnya lya baze wange newaakubadde obusika bwe ku nsi yonna.”
8 Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Ddayo eka, nzija kukola ku nsonga yo.” 9 Naye omukazi ow’e Tekowa n’agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka, omusango ka gubeere ku nze, n’ennyumba ya kitange; kabaka n’obwakabaka bwe buleme kubeerako musango.”
10 Kabaka n’addamu nti, “Bwe wanaabeerawo omuntu yenna abaako kya kugamba, mundeetere, taddeyo nate kukutawanya.”
11 Omukazi n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, kabaka, ondayirire eri Mukama Katonda wo, awalana eggwanga olw’omusaayi era aziyiza obubi okweyongera ku bubi, mutabani wange aleme okuzikirizibwa.” N’amuddamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, tewaliba luviiri olwa mutabani wo olulimuva ku mutwe.”
12 Awo omukazi n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, ka mbeeko ekigambo kye ŋŋamba mukama wange kabaka.” N’amuddamu nti, “Yogera.”
13 Omukazi n’ayogera nti, “Kiki ekikukoza ekigambo bwe kityo abantu ba Katonda? Kabaka aba teyeesalira yekka omusango kubanga takomezaawo omwana we eyagobebwa? 14 Ffenna tuli baakufa, ng’amazzi bwe gayiibwa ku ttaka, ne gatayinzika kuyooleka nate. Naye Katonda taggyawo bulamu, anoonya engeri gy’anaayinza okukomyawo omuntu abuze.
15 “Kale nno ekyo kye kyandeese eri kabaka, kubanga abantu bantiisizza, ne baleetera omuweereza wo okulowooza nti, ‘Bwe nnaayogera ne kabaka, mpozzi aliddamu omuweereza we ky’amusaba. 16 Oboolyawo kabaka anaawulira ensonga yange, n’alokola omuzaana we mu mukono gw’omusajja agezaako okunzikiriza nze n’omwana wange okutuggyako obusika Katonda bwe yatuwa.’
17 “Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi n’ebibi. Mukama Katonda wo abeere naawe.’ ”
18 Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Tobaako n’ekimu ky’onkisa ku bye nnaakubuuza.” Omukazi n’addamu nti, “Mukama wange kabaka ambuuze.”
19 Kabaka n’amubuuza nti, “Omukono gwa Yowaabu guli wamu naawe mu bigambo ebyo byonna?”
Omukazi n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange kabaka, tewali ayinza okukubuzaabuza ng’adda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono okukuggya ku ky’oyogera mukama wange kabaka. Weewaawo, omuddu wo Yowaabu yeyandagidde, n’ampa n’ebigambo ebyo byonna. 20 Omuddu wo Yowaabu, ekyo y’akikoze okukyusa embeera eriwo kaakano. Naye mukama wange mugezigezi nga malayika wa Katonda amanyi byonna ebifa ku nsi.”
21 Awo kabaka n’agamba Yowaabu nti, “Kale, nzija kukikola. Genda okime omuvubuka Abusaalomu.”
22 Awo Yowaabu n’agwa bugazi ku ttaka ne yeeyanza, n’asabira kabaka omukisa, n’ayogera nti, “Leero, omuddu wo ategedde ng’alabye ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga kabaka azeemu okwegayirira okw’omuddu we.”
23 Yowaabu n’agenda e Gesuli n’akima Abusaalomu n’amukomyawo e Yerusaalemi. 24 Naye kabaka n’awa ekiragiro nti, “Ateekwa kugenda mu nnyumba eyiye ku bubwe, tateekwa kulaba maaso gange.” Awo Abusaalomu n’abeera mu nnyumba eyiye ku bubwe, n’atalaba maaso ga kabaka.
25 Mu Isirayiri yonna temwali n’omu eyatenderezebwa nga Abusaalomu olw’endabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo. 26 Buli lwe yasalanga enviiri ze, lwe zali ng’ennyingi ku mutwe gwe, obuzito bw’azo bw’ali nga kilo bbiri ne desimoolo ssatu ng’ebipimo bya kabaka bwe byali.
27 Abusaalomu n’azaalirwa abaana basatu aboobulenzi n’owoobuwala omu. Omuwala ye yali Tamali nga mukyala mulungi nnyo ku maaso.
28 Abusaalomu n’abeera mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri nga talaba maaso ga kabaka. 29 Awo Abusaalomu n’atumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu n’atagendayo. N’amutumya omulundi ogwokubiri, naye era n’agaana okugenda yo. 30 Abusaalomu n’agamba abaddu be nti, “Ennimiro ya Yowaabu eriraanye eyange, era alinamu sayiri. Mugende mugikumeko omuliro.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagikumako omuliro ne bagyokya.
31 Yowaabu n’agolokoka n’agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n’amubuuza nti, “Lwaki abaddu bo bookezza ennimiro yange?” 32 Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.”
33 Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka, n’amutegeeza ebigambo ebyo. Kabaka n’atumya Abusaalomu, n’ajja, n’avuunama amaaso ge wansi mu maaso ga kabaka. Kabaka n’amunywegera.