5
Okubeera mu Musana
Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe. Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera. Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.
Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana, ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima, 10 nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe. 11 Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. 12 Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama. 13 Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri. 14 Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,
“Zuukuka ggwe eyeebase,
Ozuukire mu bafu,
Kristo anaakwakira.”
15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 16 nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 17 Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
Abakazi ne ba Bbaabwe
21 Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
22 Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. 23 Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.
25 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 26 Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 27 alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. 28 N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. 29 Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, 30 kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31 “Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” 32 Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. 33 Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.