33
Okuzza Obuggya Endagaano
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Vva mu kifo kino ogende, ggwe n’abantu be waggya mu nsi y’e Misiri, olage mu nsi gye nalayirira Ibulayimu ne Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa bazzukulu bammwe.’ Ndiweereza malayika abakulemberenga; era ndigobamu Abakanani, n’Abamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi. Yambuka mu nsi ekulukutiramu amata n’omubisi gw’enjuki. Naye sijja kugenda nammwe; sirwa kubazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ab’ensingo enkakanyavu.”
Abantu bwe baawulira amawulire ago ag’ennaku, ne bakungubaga ne watabaawo ayambala eby’omu matu wadde eby’oku mikono ebyokwewoomya. Kubanga Mukama yali alagidde Musa nti, “Gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Mulina omutima omukakanyavu, era singa ntambula nammwe okumala akaseera wadde katono katya, nzija kubazikiriza. Kale kaakano mweyambulemu ebyokwewoomya byammwe, ndyoke ndabe kye nnaakola.’ ” Bwe batyo abaana ba Isirayiri ne beeyambulamu eby’obugagga byabwe nga bali ku lusozi Kolebu.
Kale, Musa yaddiranga eweema n’agisimba ebweru w’olusiisira, ewala ddala n’olusiisira; n’agiyita Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ne buli eyeetaaganga Mukama, ng’agenda awali Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, eyali ebweru w’olusiisira. Era buli Musa lwe yafulumanga n’alaga eri Eweema, abantu bonna nga bayimirira mu miryango gy’eweema zaabwe ne batunuulira Musa okutuusa lwe yayingiranga mu Weema. Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey’ekire n’ekka n’eyimirira mu mulyango gw’Eweema; Mukama n’alyoka ayogera ne Musa. 10 Abantu bwe baalabanga ng’empagi ey’ekire eyimiridde mu mulyango gw’Eweema, bonna ne basituka ne basinza, buli omu mu mulyango gw’eweema ye. 11 Bw’atyo Mukama bwe yayogeranga ne Musa nga batunulaganye, ng’omuntu bw’ayogera ne mukwano gwe. Musa bwe yaddangayo mu lusiisira, omuweereza we, omuvubuka Yoswa mutabani wa Nuuni, ye n’asigalayo mu Weema.
Musa Atunuulira Ekitiibwa kya Mukama
12 Musa n’agamba Mukama nti, “Obadde ontegeeza nti, ‘Kulembera abantu bano,’ naye omuntu gw’onontuma naye tomuntegeezezza. Ogambye nti, ‘Nkumanyi awamu n’erinnya lyo, era onsanyusizza.’ 13 Obanga nkusanyusizza, njigiriza amakubo go ndyoke nkumanye era nneeyongeranga okukusanyusa. Jjukira nti eggwanga lino be bantu bo.”
14  Mukama n’addamu nti, “Nnaagendanga naawe, era nnaakuwummuzanga.”
15 Musa n’amugamba nti, “Obanga toogende naffe, totuggya wano. 16 Kale abantu balitegeerera ku ki nga Nkusanyusizza, nze n’abantu bo? Si lwa kubanga onooba ogenze naffe, ne tuba ba njawulo, nze n’abantu bo, nga twawukana ku bantu bonna ab’oku nsi?”
17 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kukola ekyo kyennyini ky’osabye; onsanyusizza, era nkumanyi awamu n’erinnya lyo.”
18 Musa n’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndaga ekitiibwa kyo.”
19  Mukama n’agamba nti, “Nzija kuggyayo obulungi bwange bwonna nga mbuyisa mu maaso go. Era nzija kukutegeeza erinnya lyange, Mukama. Buli gwe nnaayagalanga okukwatirwa ekisa, nnaamukwatirwanga ekisa, ne buli gwe nnaayagalanga okusaasira nnaamusaasiranga.” 20 Era n’agamba nti, “Naye toyinza kulaba maaso gange, kubanga tewali muntu antunulako n’aba mulamu.”
21  Mukama n’agamba nti, “Waliwo wano okumpi nange ekifo ku lwazi kw’onooyimirira. 22 Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nnaakuteeka mu mpataanya mu lwazi, ne nkubikkako omukono gwange okutuusa lwe nnaamala okuyitawo. 23 Oluvannyuma omukono gwange nnaaguggyawo, n’olaba amabega gange; naye tojja kulaba ku maaso gange.”