35
Ebiragiro bya Ssabbiiti
1 Awo Musa n’akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Bino bye bintu Mukama by’abalagidde okukola. 2 Munaakolanga emirimu mu nnaku omukaaga; naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga Lwassabbiiti, lutukuvu, munaaluwummulanga awali Mukama. Buli anaakoleranga omulimu ku lunaku olwo anattibwanga. 3 Temukumanga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku Lwassabbiiti.”
Ekiragiro ky’Eweema ya Mukama
4 Musa n’agamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama ky’alagidde. 5 Mutoole ku bye mulina muweeyo eri Mukama. Buli omu aweeyo, nga bw’ayagala mu mutima gwe ebiweebwayo eri Mukama:
“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;
6 n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;
n’obwoya bw’embuzi,
7 n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;
n’embaawo z’omuti gwa akasiya,
8 n’amafuta g’ettaala,
n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza,
9 n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi era ne ku kyomukifuba.
10 “Abo bonna mu mmwe abakugu mu kukola, muveeyo mujje mukole ebyo byonna Mukama by’atulagidde:
11 “Eweema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa n’olugoye lwayo n’ekibikkako, n’ebisiba, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;
12 essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo, n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, n’eggigi erigisiikiriza;
13 emmeeza n’emisituliro gyayo ne byonna ebigibeerako, n’emigaati gya egy’Okulaga;
14 ekikondo ky’ettaala n’ebigenderako, ettaala n’amafuta gaazo;
15 ekyoto eky’okwoterezaamu obubaane n’emisituliro gyakyo; amafuta ag’okwawula, n’obubaane obw’akawoowo;
olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;
16 ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo; emisituliro gyakyo ne byonna ebikozeserwako;
ebbensani ey’ekikomo ne ky’etuulako;
17 entimbe ez’oku bisenge eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula; n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya;
18 enkondo z’eweema n’ez’omu luggya n’emiguwa gyazo;
19 ebyambalo ebiruke ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, bye byambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.”
Abantu Baleeta Ebirabo Byabwe
20 Awo abantu bonna ab’ekibiina ky’abaana ba Isirayiri ne bava awali Musa ne bagenda. 21 Buli eyayagala, era ng’omwoyo gwe bwe gwamukubiriza, n’awaayo eri Mukama eby’okukozesa Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebikozesebwamu byonna, n’eby’okukozesa ebyambalo ebitukuvu. 22 Abasajja n’abakazi bonna abaayagala mu mitima gyabwe ne bajja; ne baleeta ebikwaso eby’omuwendo, empeta ez’omu matu, n’empeta ez’oku ngalo, n’ebikomo, n’ebirala ebya zaabu ebitali bimu; buli muntu n’awaayo ekirabo ekya zaabu eri Mukama. 23 Era buli muntu eyalina olugoye olwa bbululu, oba olwa kakobe, oba olumyufu, oba olwa linena ennungi, oba olw’obwoya bw’embuzi; oba amaliba amakunye ag’endiga ensajja oba ag’embuzi, byonna ne babireeta. 24 Buli omu eyalina eky’okuwaayo ekya ffeeza oba eky’ekikomo, yakireeta n’akiwaayo eri Mukama; era na buli musajja eyalina olubaawo olwa akasiya nga luyinza okugasa mu mulimu ogwali gukolebwa, yaluleeta n’aluwaayo. 25 Abakazi bonna abaali bamanyi ennyo okulanga ewuzi, ne balanga n’engalo zaabwe ewuzi eza bbululu, n’eza kakobe, n’emyufu n’eza linena omuyonde obulungi, ne bazireeta ne baziwaayo. 26 Era n’abakazi bonna abaali abakugu era nga beeyagalidde, ne balanga ewuzi mu bwoya bw’embuzi. 27 Awo abakulembeze ne baleeta amayinja aga onuku, n’amayinja amalala ag’omuwendo, gasalibwe galyoke gatonebwe ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne ku ky’omu kifuba. 28 Era ne baleeta n’ebyakaloosa, n’amafuta g’ettaala, n’amafuta ag’okwawula n’okukozesa ku bubaane. 29 Abaana ba Isirayiri bonna, abasajja n’abakazi, abaalina omutima ogwagala okuleeta ekintu kyonna olw’omulimu Mukama gwe yali alagidde Musa okukolebwa, ne bakireeta ng’ekiweebwayo kyabwe kye baawaayo eri Mukama nga beesiimidde.
Bezaaleeri ne Okoliyaabu n’abakozi
30 Awo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Muwulire. Mukama alonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda. 31 Mukama amujjuzza Omwoyo we, n’obusobozi, n’amagezi, n’okuteteenkanya, n’okutegeera, awamu n’obukozi obwa buli ngeri; 32 ayiiye amajjolobera ag’okukolebwa mu zaabu ne ffeeza ne mu kikomo; 33 era n’ag’okusalwa mu mayinja ag’okutona, era n’ag’okwolebwa mu miti, n’okukola buli ngeri yonna ey’amagezi. 34 Era ye ne Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, Mukama abawadde obusobozi okuyigiriza abalala. 35 Abajjuzza amagezi ag’obukugu mu mitima gyabwe okukola eby’emikono ebya buli ngeri ng’ebikolebwa abayiiya amajjolobera, oba abasala amayinja, oba abatunzi b’emidalizo n’ebimuli mu wuzi eza bbululu, n’eza kakobe n’emyufu mu bitambaala ebya linena omulungi, oba abalusi, oba abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri n’abatetenkanya amajjolobera.”