36
Ezadde lya Esawu
Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.
Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi, ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.
Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri; ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.
Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo. Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe. Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.
Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.
 
10 Batabani be baali:
Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.
11 Batabani ba Erifaazi baali
Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.
12 Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.
13 Bano be batabani ba Leweri:
Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.
14 N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali
Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.
 
15 Bano be bakulu b’enda ya Esawu:
Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu:
Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi, 16 ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.
17 Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:
Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.
18 Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:
Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
19 Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.
 
20 Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 21 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.
22 Batabani ba Lotani baali
Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.
23 Batabani ba Sobali be ba
Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.
24 Aba Zibyoni, be ba
Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.
25 Abaana ba Ana be ba
Disoni ne Okolibama omuwala.
26 Bo batabani ba Disoni be ba
Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
27 Aba Ezeri be ba
Birani, ne Zaavani ne Akani.
28 Ate aba Disani be ba
Uzi ne Alani.
29 Bano be bakulu b’enda za Bakooli:
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 30 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.
Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.
Bakabaka ba Edomu
31 Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:
32 Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.
33 Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.
34 Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.
35 Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.
36 Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
37 Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.
38 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
39 Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.
 
40 Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:
Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,
41 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,
42 ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,
43 ne Magidiyeri, ne Iramu.
Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.