31
1 “Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Abantu abawona ekitala
baliraba ekisa mu ddungu.
Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”
3 Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti,
“Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo,
kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.
4 Ndikuzimba nate, era olizimbibwa,
ggwe Omuwala Isirayiri.
Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo
ofulume ozine n’abo abasanyuka.
5 Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya,
abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.
6 Walibeerawo olunaku
abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti,
‘Mujje, tugende ku Sayuuni,
eri Mukama Katonda waffe.’ ”
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo
Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.”
Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti,
“Ayi Mukama, lokola abantu bo,
abaasigalawo ku Isirayiri.”
8 Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono,
ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi.
Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema,
n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala,
era abantu bangi balikomawo.
9 Balikomawo nga bakaaba,
balisaba nga mbakomyawo.
Ndibakulembera ku mabbali g’emigga,
mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira
kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri,
era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.
10 “Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga,
mukyogere mu nsi ezeewala.
‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya
era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’
11 Kubanga Mukama aligula Yakobo
era abanunule okuva mu mukono gw’oyo abasinga amaanyi.
12 Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni;
balisanyukira okugabula kwa Mukama:
emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo,
n’abaana b’endiga era n’ebisibo.
Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi,
era tebalyongera kulaba nnaku.
13 Abawala balizina beesiime,
n’abavubuka, n’abakadde.
Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu;
ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.
14 Ndikkusa bakabona ebintu ebingi,
n’abantu bange mbajjuze ebintu,”
bw’ayogera Mukama.
15 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Eddoboozi liwulirwa mu Laama,
nga likungubaga n’okukaaba okungi.
Laakeeri akaabira abaana be
era agaanye okusirisibwa,
kubanga abaana be baweddewo.”
16 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba
n’amaaso go galeme okujja amaziga,
kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,”
bw’ayogera Mukama.
Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
17 Waliwo essuubi,
bw’ayogera Mukama.
Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.
18 “Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
‘Wankangavvula ng’ennyana endalu
era kaakano nkangavvuddwa.
Nziza, n’akomawo gy’oli
kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 Nga mmaze okubula,
neenenya,
nga nzizeemu amagezi agategeera
ne neekuba mu kifuba.
Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,
kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
20 Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
nnina ekisa kingi gy’ali,”
bw’ayogera Mukama.
21 “Muteeke ebipande ku nguudo;
muteekeeko ebipande.
Mwetegereze ekkubo eddene,
ekkubo mwe muyita.
Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,
komawo mu bibuga byo.
22 Olituusa ddi okudda eno n’eri,
ggwe omuwala atali mwesigwa?
Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,
omukazi aliwa omusajja obukuumi.”
23 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’ 24 Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe. 25 Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”
26 Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.
27 “Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo. 28 Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama. 29 “Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,
“ ‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa* emizabbibu gitera okuba nga giwoomerera noolwekyo tukisome nti giwoomerera,
n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’ ”
30 Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.
31 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,
lwe ndikola endagaano empya
n’ennyumba ya Isirayiri
era n’ennyumba ya Yuda.
32 Teribeera ng’endagaano eri
gye nakola ne bajjajjaabwe
bwe nabakwata ku mukono
okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,
kubanga baamenya endagaano yange nabo
wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”
bw’ayogera Mukama.
33 “Eno y’endagaano gye nnaakola
n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.
“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,
ne ngawandiika ku mitima gyabwe.
Ndibeera Katonda waabwe,
nabo balibeera bantu bange.
34 Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”
35 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Oyo ateekawo enjuba
okwaka emisana,
n’alagira omwezi n’emmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja
amayengo gaayo ne gawuluguma;
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
36 “Amateeka gano
nga bwe gavudde mu maaso gange,
n’ezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga
olw’ebyo byonna bye bakoze,” bw’ayogera Mukama Katonda.
37 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Okuggyako ng’eggulu lisobola okupimibwa
n’emisingi gy’ensi wansi okunoonyezebwa,
olwo lw’endigoba ezzadde lya Isirayiri
olw’ebyo bye bakoze,”
bw’ayogera Mukama.
38 “Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda. 39 Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa. 40 Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”