13
Yesu Anaaza Abayigirizwa be Ebigere
Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.
Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe. Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda, n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.
Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”
Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”
Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”
Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”
10 Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.” 11 Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”
12 Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde? 13  Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi. 14  Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. 15  Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze. 16  Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye. 17  Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola. 18  Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’ 19  Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize. 20  Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma.”
21 Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
22 Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako. 23 Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu, 24 Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, “Mutubuulize gw’ayogerako.”
25 Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?” 26 Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni. 27 Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu.
Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!” 28 Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo. 29 Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu. 30 Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.
31 Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye. 32  Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.
33  “Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34  “Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. 35  Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
36 Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?”
Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”
37 Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”
38 Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”