5
1 “Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba?
Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira?
2 Obukyayi butta atalina magezi,
n’obuggya butta omusirusiru.
3 Ndabye abasirusiru nga banywevu,
naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu.
4 Abaana baabwe tebalina bukuumi,
babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.
5 Omuyala alya amakungula gaabwe
era atwala n’ag’omu maggwa
era awankirawankira eby’obugagga byabwe.
6 Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi,
wadde obuzibu okuva mu ttaka,
7 wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku,
ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.
8 Naye nze, nzija kunoonya Katonda
era mmulekere ensonga zange.
9 Akola ebikulu, ebitanoonyezeka,
ebyewuunyisa ebitabalika.
10 Atonnyesa enkuba ku nsi,
n’aweereza amazzi mu byalo.
11 Ayimusa abo abanyigirizibwa
n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
12 Aziyiza enkwe z’ababi,
emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
13 Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe,
n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.
14 Ekizikiza kibabuutikira emisana,
ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.
15 Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi,
n’abawonya ekitala kyabwe.
16 Abaavu ne balyoka baba n’essuubi,
n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa.
17 “Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira;
noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.
18 Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga,
y’alumya era y’awonya.
19 Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga.
Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.
20 Mu njala alikuwonya okufa,
era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala.
21 Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe,
era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.
22 Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze,
era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi.
23 Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro,
era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.
24 Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe;
era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.
25 Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene,
ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi.
26 Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala,
ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.
27 “Ekyo twakyekenneenya, kituufu.
Kimanye nga kikwata ku ggwe.”