22
Erifaazi Addamu
1 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
2 “Omuntu ayinza okugasa Katonda?
Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba?
3 Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu?
Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?
4 “Akukangavvula lwa kumutya
era kyava akuvunaana?
5 Okwonoona kwo si kunene nnyo?
Ebibi byo si bingi nnyo?
6 Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga;
waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.
7 Tewawa bakoowu mazzi,
abaagala wabamma emmere,
8 wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka,
omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.
9 Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde;
abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.
10 Emitego kyegivudde gikwetooloola.
Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira?
11 Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba,
era lwaki amataba gakubikkako?
12 “Katonda tali waggulu mu ggulu?
Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!
13 Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki?
Ayinza okulamulira mu kizikiza?
14 Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba
bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’
15 Onoosigala mu kkubo ery’edda
abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata?
16 Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka,
emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.
17 Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe!
Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
18 Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi,
noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi.
19 Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza;
abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,
20 ‘Ddala abalabe baffe bazikiridde,
era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’
21 “Gonderanga Katonda ofunenga emirembe;
mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli.
22 Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke
era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.
23 Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya,
bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,
24 n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka,
zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga,
25 awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo,
era ffeeza esingayo obulungi.
26 Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna
era oyimuse amaaso go eri Katonda.
27 Olimusaba, alikuwulira,
era olituukiriza obweyamo bwo.
28 Ky’olisalawo kirikolebwa,
era ekitangaala kirimulisa amakubo go.
29 Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’
Olwo alirokola abagudde.
30 Alinunula n’oyo aliko omusango,
alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”