24
“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?
Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,
ne balunda ebisolo bye babbye.
Batwala endogoyi ya mulekwa
ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere;
mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;
tebalina kye beebikka mu mpewo.
Enkuba y’oku nsozi ebatobya,
ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10 Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11 Basogolera emizabbibu ku mayinja,
ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12 Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi.
Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.
 
13 “Waliwo abo abajeemera omusana,
abatamanyi makubo ge,
abatasigala mu kwaka kwagwo.
14 Omutemu agolokoka nga obudde buzibye
n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga;
ekiro abbira ddala.
15 Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’
n’abikka ne ku maaso ge.
16 Mu kizikiza mwe basimira amayumba,
kyokka emisana baba beggalidde.
Tebaagala kitangaala.
17 Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18 Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi.
Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20 Olubuto lunaamwerabiranga;
envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa.
Tajjukirwenga nate,
omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21 Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22 Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23 Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe
n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24 Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna.
Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.
 
25 “Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,
n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”