32
Eriku Ayogera
1 Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. 2 Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. 3 Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. 4 Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. 5 Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.
6 Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti,
“Nze ndi muto mu myaka,
mmwe muli bakulu,
kyenavudde ntya
okubabuulira kye ndowooza.
7 Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera,
n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.
8 Kyokka omwoyo oguli mu muntu,
nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
9 Abakadde si be bokka abalina amagezi,
wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.
10 “Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize,
nange mbabuulire kye mmanyi.
11 Nassizzaayo omwoyo nga mwogera,
nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.
12 Nabawulirizza bulungi.
Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu;
tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.
13 Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi;
muleke Katonda amuwangule so si bantu.’
14 Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze,
era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.
15 “Basobeddwa, tebalina kya kwogera,
ebigambo bibaweddeko.
16 Kaakano nsirike busirisi,
nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?
17 Nange nnina eky’okwogera,
era nnaayogera kye mmanyi,
18 kubanga nzijjudde ebigambo,
era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.
19 Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa,
ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
20 Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe,
nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.
21 Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi,
era sijja na kuwaana muntu yenna.
22 Kubanga singa mpaaniriza,
Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”