23
Yoswa Asiibula
Bwe waayitawo ekiseera, Mukama Katonda ng’awadde Isirayiri emirembe mu njuyi zonna awaali abalabe, Yoswa ng’akaddiye ng’awangadde emyaka mingi, n’ayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe n’abakulembeze baabwe, abalamuzi n’abakungu n’abagamba nti, “Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi; mmwe bennyini mulabye byonna Mukama Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Mukama Katonda wammwe yabalwaniridde. Mulabe, ngabidde ebika byammwe amawanga ago agabadde gakyasigadde, amawanga gonna ge namala okuwangula, okuva ku Yoludaani okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba. Mukama Katonda ajja kubagoba babaviire abasindiikirize okuva mu maaso gammwe mutwale ensi yaabwe nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.
“Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata n’okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya Musa eky’amateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono. Temwetabanga n’amawanga gano agasigadde mu mmwe, wadde okwogera ku mannya ga bakatonda baabwe, okulayira mu mannya gaabwe okubaweereza wadde okubavuunamira. Naye munywerere ku Mukama Katonda wammwe nga bwe mukoze okutuusa leero.
“Kubanga Mukama Katonda wammwe agobye amawanga amanene ag’amaanyi era n’okutuusa kaakano teri n’omu asobodde kubaziyiza. 10 Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza. 11 Noolwekyo mwekuume, mwagale Mukama Katonda wammwe, 12 kubanga bwe munaamuvaangako ne mwegattanga n’abamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo, 13 mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, n’amaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde.
14 “Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye. 15 Naye ng’ebintu byonna ebirungi Mukama Katonda wammwe bye yabasuubiza nga bwe bibaweereddwa, bw’atyo Mukama Katonda wammwe bw’anaabatuusangako, ebibi byonna okutuusa ng’abazikirizza okuva mu nsi eno ennungi gy’abawadde. 16 Bwe munaamenyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yabalagira, ne mugenda ne muweerezanga bakatonda abalala ne mubavuunamiranga, obusungu bwa Mukama bunaaboolekeranga, ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gy’abawadde.”