5
1 Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
Tunula olabe ennaku yaffe.
2 Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
3 Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
4 Tusasulira amazzi ge tunywa;
n’enku tuteekwa okuzigula.
5 Abatucocca batugobaganya;
tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
6 Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
okutufuniranga ku mmere.
7 Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
8 Abaddu be batufuga,
tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
9 Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
olw’ekitala ekiri mu ddungu.
10 Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro
olw’enjala ennyingi.
11 Abakyala ba Sayuuni,
n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
12 Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13 Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
14 Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
n’abavubuka tebakyayimba.
15 Emitima gyaffe tegikyasanyuka,
n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
16 Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
Zitusanze kubanga twonoonye!
17 Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,
era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
18 Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
ebibe kyebivudde bitambulirako.
19 Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
20 Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
21 Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
otuzze buggya ng’edda;
22 wabula ng’otusuulidde ddala,
era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.