5
Omufuzi Ava mu Besirekemu
1 Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye,
kubanga tulumbiddwa.
Omukulembeze wa Isirayiri
balimukuba omuggo ku luba.
2 “Naye ggwe Besirekemu Efulasa,
newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,
mu ggwe mwe muliva alibeera
omufuzi wange mu Isirayiri.
Oyo yaliwo okuva edda n’edda,
ng’ensi tennabaawo.”
3 Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo
okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana,
era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo
eri bannaabwe mu Isirayiri.
4 Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye
mu maanyi ga Mukama,
mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.
Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu
okutuusa ku nkomerero y’ensi.
5 Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe.
Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe
n’abuna ebigo byaffe,
tulimuyimbulira abasumba musanvu,
n’abakulembeze munaana.
6 Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala
era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone.
Naye alitulokola eri Omwasuli
bw’alitulumba mu nsi yaffe
era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.
7 Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera
wakati mu mawanga agabeetoolodde,
babe ng’omusulo oguva eri Mukama,
ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo
obutalindirira muntu
oba abaana b’abantu.
8 Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,
abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;
ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,
bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula
ne wataba n’omu aziwonya.
9 Omukono gwo guliwangula abalabe bo,
ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.
10 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“Ndizikiriza embalaasi zo
ne nsanyaawo n’amagaali go.
11 Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo
era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.
12 Obulogo bwo ndibumalawo
era toliddayo kukolima nate.
13 N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.
Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;
temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda
be mwekoledde n’emikono gyammwe.
14 Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe,
ebibuga byammwe n’embizikiriza.
15 Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde
n’obusungu n’ekiruyi.”