3
Batabani ba Alooni
Luno lwe lulyo lwa Alooni n’olwa Musa mu biseera Mukama mwe yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi.
 
Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu, omubereberye, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali. Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, abaafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni okuba bakabona, era abaayawulibwa okuweereza mu mulimu gw’obwakabona. Naye nno Nadabu ne Abiku baatondokera mu maaso ga Mukama ne bafa, kubanga baayokya ekiweebwayo eri Mukama Katonda n’omuliro ogutakkirizibwa nga bali mu ddungu ly’e Sinaayi. Tebaalina baana; bwe batyo, Eriyazaali ne Isamaali ne basigala nga be bokka abaaweerezanga nga bakabona ebbanga lyonna kitaabwe Alooni lye yamala nga mulamu.
Omuwendo gw’Abaleevi n’Emirimu gyabwe
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Leeta ab’omu kika kya Leevi* Kika kya Leevi baawukanira ddala ku bakabona, abaali bazzukulu ba Alooni. Abaleevi baayambanga bakabona. obakwase Alooni kabona bamuweerezenga. Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama. Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri. Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri. 10 Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”
11  Mukama Katonda n’ayongera okugamba Musa nti, 12 “Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange, 13 kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”
14 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti, 15 “Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe Abaleevi tebaawandikibwanga kulwana mu magye, era kyebaava batabalibwa oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri egy’obukulu. Ekya babazanga, kwe kumanya abaana baabwe ababereberye (3:40-43).. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.” 16 Bw’atyo Musa n’ababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
17 Gano ge mannya ga batabani ba Leevi:
Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali.
18 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali:
Libuni ne Simeeyi.
19 Bano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali:
Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
20 Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali:
Makuli ne Musi.
Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali.
 
21 Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni.
22 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500).
23 Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.
24 Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri.
25 Abagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema, 26 n’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo.
 
27 Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi.
28 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga ebiwandiiko ebirala bigamba kanaana mu bisatu (8,600).
Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.
29 Ab’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
30 Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.
31 Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.
32 Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.
 
33 Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali.
34 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200).
35 Omukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri;
Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
36 Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo. 37 Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa.
 
38 Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri.
Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa.
 
39 Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
Okubala Abasajja Ababereberye
40  Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana ow’omwezi ogumu n’okusingawo okole olukalala lw’amannya gaabwe gonna. 41 Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo ky’ababereberye ab’abaana ba Isirayiri, era onfunire n’ente ez’Abaleevi mu kifo ky’ente ez’abaana ba Isirayiri embereberye. Nze Mukama Katonda.”
42 Awo Musa n’abala abaana ba Isirayiri ababereberye nga Mukama Katonda bwe yamulagira. 43 Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa, nga n’amannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu.
44 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 45 “Nfunira Abaleevi badde mu kifo ky’abaana ba Isirayiri ababereberye, n’ente z’Abaleevi zidde mu kifo ky’ente z’abaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze Mukama Katonda. 46 Okununula ababereberye ab’abaana ba Isirayiri ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasukkirira ku muwendo gw’Abaleevi abasajja, 47 onoddiranga gulaamu amakumi ataano mu ttaano ku buli omu, ng’ogeraageranyiza ku gulaamu kkumi n’emu ey’awatukuvu nga bw’eri, ye sekeri§ sekeri sekeri emu ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu ey’obuzito ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu. 48 Ensimbi ez’okununula abaana ba Isirayiri abasukkiriramu oziwanga Alooni ne batabani be.”
49 Bw’atyo Musa n’asolooza ensimbi ez’okwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gw’abo abaanunulibwa Abaleevi. 50 Yasolooza ku babereberye ab’abaana ba Isirayiri effeeza ey’obuzito obwa kilo kkumi na ttaano n’ekitundu, ng’engeraageranya ya sekeri y’awatukuvu bw’eri. 51 Musa n’addira ensimbi ez’okwenunula n’aziwa Alooni ne batabani be, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

*3:6 Kika kya Leevi baawukanira ddala ku bakabona, abaali bazzukulu ba Alooni. Abaleevi baayambanga bakabona.

3:15 Abaleevi tebaawandikibwanga kulwana mu magye, era kyebaava batabalibwa oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri egy’obukulu. Ekya babazanga, kwe kumanya abaana baabwe ababereberye (3:40-43).

3:28 ebiwandiiko ebirala bigamba kanaana mu bisatu

§3:47 sekeri sekeri emu ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu