19
Okutukuza Atali Mulongoofu
1 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 2 “Kino kye kiragiro eky’etteeka Mukama ky’alagidde: Gamba abaana ba Isirayiri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko kamogo wadde ekikyamu kyonna, era nga tesibibwangamu kikoligo. 3 Ogiwanga Eriyazaali kabona; eneetwalibwanga ebweru w’olusiisira n’ettirwa mu maaso ge. 4 Eriyazaali anaddiranga ku musaayi gwayo n’olunwe lwe n’agumansira okwolekera obwenyi bwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu emirundi musanvu. 5 Ente eyo eneeyokerwanga mu maaso ge; ne bookya eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’omusaayi gwayo n’obusa bwayo. 6 Kabona anaddiranga omuti omwerezi, n’ezobu n’olugoye olumyufu n’abisuula wakati mu nte eyokebwa. 7 Ebyo nga biwedde kabona anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba omubiri gwe n’amazzi. Anaddangayo mu lusiisira, naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 8 N’omusajja anaayokyanga ente eyo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9 “Omusajja omulongoofu anaayoolanga evvu ly’ente, anaaliteekanga mu kifo ekirongoofu ebweru w’olusiisira. Linaalabirirwanga abaana ba Isirayiri ne balikozesanga mu mazzi ag’okwerongoosa; kwe kulongoosebwa okw’okuggibwako ekibi. 10 Omuntu oyo anaayoolanga evvu ly’ente, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Eryo linaabanga etteeka ery’emirembe n’emirembe eri abaana ba Isirayiri n’eri bannamawanga abanaatuulanga mu bo.
11 “Buli anaakwatanga ku mulambo ogw’omuntu yenna, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. 12 Kinaamusaaniranga okwerongoosa n’amazzi ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, olwo n’alyoka abeera omulongoofu. Naye bw’ateerongoosenga ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, taabenga mulongoofu. 13 Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu n’ateelongoosa, anaabanga ayonoonye ennyumba ya Mukama Katonda. Omuntu oyo anaagobwanga mu Isirayiri. Kubanga teyamansirwako mazzi agalongoosa, anaabeeranga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe bunaamusigalangako.
14 “Lino lye tteeka erikwata ku muntu anaafiiranga mu weema: Buli anaayingiranga mu weema omwo n’oyo anaabanga agirimu banaabanga abatali balongoofu okumala ennaku musanvu. 15 Buli kintu ekiterekwamu ekyasaamiridde ekitaliiko kisaanikira tekiibenga kirongoofu.
16 “Omuntu yenna ng’abadde ali ebweru mu kyererezi, n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba olumbe gwe lusse, oba omuntu yenna anaakwatanga ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
17 “Nga mukola ku muntu atali mulongoofu, munaatoolanga ku vvu ery’oku kiweebwayo olw’ekibi ne muliteeka mu bbakuli ne muliyiwako amazzi amalungi. 18 Omusajja omulongoofu anaddiranga ezobu n’aginnyika mu mazzi, n’agamansira ku weema ne ku bintu byamu byonna ne ku bantu bonna abanaabanga balimu. Era anaamansiranga ne ku muntu anaabanga akutte ku ggumba ery’omuntu, ne ku malaalo, ne ku muntu attiddwa, ne ku oyo afudde olumbe. 19 Omusajja omulongoofu anaamansiranga ku oyo atali mulongoofu ku lunaku olwokusatu ne ku lw’omusanvu, ne ku lunaku olw’omusanvu anaabanga amulongoosezza. Omuntu oyo alongoosebwa anaayozanga engoye ze mu mazzi, n’okunaaba n’anaaba yenna; era akawungeezi ako anaabeeranga mulongoofu.
Ekibonerezo eky’Obuteerongoosa
20 “Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateerongoosenga anaagobwanga mu banne bonna, n’asalibwa ku kibiina kyabwe, kubanga anaabeeranga ayonoonye awatukuvu wa Mukama Katonda. Amazzi agalongoosa nga tegamumansiddwako, taabeerenga mulongoofu. 21 Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya mirembe gyonna. Oyo anaamansiranga amazzi ag’obulongoofu, naye anaayozanga engoye ze, n’oyo anaakwatanga ku mazzi ag’okulongoosa anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22 Buli kintu atali mulongoofu ky’akwatako, kinaabanga ekitali kirongoofu; na buli anaakikwatangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”