32
Ekika kya Lewubeeni n’ekya Gaadi Bituula mu Gireyaadi
1 Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana g’ente n’ebisibo by’endiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri n’ensi ya Gireyaadi, ne balaba ng’ekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe. 2 Ne bajja awali Musa ne Eriyazaali kabona, n’eri abakulembeze b’ekibiina ne babagamba nti, 3 “Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni, 4 bye bitundu by’ensi Mukama Katonda gye yawangulira mu maaso g’abaana ba Isirayiri, nsi nnungi okulundiramu; ate ng’abaweereza bammwe tulina ebisolo byaffe bingi.” 5 Ne bagamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, mukkirize ebitundu by’ensi bino bituweebwe, ffe abaweereza bammwe, bibeere obutaka bwaffe. Temutusomosa Yoludaani.”
6 Musa n’agamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano? 7 Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’abawadde? 8 Ne bakadde bammwe bwe baakola bwe nabatuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi. 9 Kubanga bwe baayambuka mu Kiwonvu ekya Esukoli, ensi ne bagiraba, ne bayeengebula emitima gy’abaana ba Isirayiri baleme okugenda okuyingira mu nsi Mukama Katonda gye yali abawadde. 10 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku olwo, n’alayira nti, 11 ‘Olw’okubanga tebaŋŋondedde n’omutima gwabwe gwonna, tewalibaawo n’omu ku basajja ab’emyaka okuva ku myaka makumi abiri okweyongerayo egy’obukulu, abaasimbuka okuva mu Misiri, aliraba ku nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; 12 tewalibaawo n’omu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi* Okusinziira ku Olubereberye 15:19 ne 36:11 Abakenizi baali Bakanani, era nga bazzukulu ba Esawu., ne Yoswa mutabani wa Nuuni, kubanga abo baagondera Mukama Katonda n’omutima gwabwe gwonna.’ 13 Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatambuliza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa omulembe gw’abo abaasobya mu maaso ga Mukama lwe gwaggweerera.
14 “Kale nno mmwe muli bazzukulu baabwe, batabani b’abakozi b’ebibi, nga mwongera okunakuwaza Mukama Katonda anyiigire Isirayiri! 15 Kubanga singa mumukuba amabega ne mutakola by’ayagala ne mutamugoberera, abantu be ajja kwongera okubeesammulako, nate abaleke mu ddungu omulundi ogwokubiri, era bwe balizikirira mwe mulibaako obuvunaanyizibwa obwo.”
Ebika Ebirala Bigabana ku Bugwanjuba bwa Yoludaani
16 Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo eby’ebisibo by’ebisolo byaffe, tuzimbe n’ebigo eby’abaana baffe abato. 17 Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu. 18 Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ng’abaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe. 19 Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani n’okweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.”
20 Awo Musa n’abagamba nti, “Bwe munaakola bwe mutyo, ne mukwata ebyokulwanyisa mu maaso ga Mukama Katonda nga mwetegekedde olutalo, 21 ne musomoka Yoludaani n’ebyokulwanyisa byammwe mu maaso ga Mukama Katonda, okutuusa ng’agobye abalabe be mu maaso ge, 22 n’ensi ng’ewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama n’eri Isirayiri. Ekitundu ky’ensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama.
23 “Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali Mukama Katonda, era mutegeerere ddala ng’ekibi kyammwe ekyo kiribayigga ne kibakwasa. 24 Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga eby’ebigo ebinywevu, n’ebisolo byammwe mubizimbire ebiraalo, era mukole n’ebyo bye musuubizza.”
25 Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga ggwe mukama waffe bw’otulagidde. 26 Abaana baffe abato ne bakazi baffe, n’ebisibo byaffe eby’endiga n’ebiraalo byaffe eby’ente byonna bijja kusigala wano mu bibuga bya Gireyaadi. 27 Naye abaweereza bo, buli musajja eyeewaddeyo okutabaala ajja kusomoka alwanire mu maaso ga Mukama Katonda, nga ggwe mukama waffe bw’ogambye.”
Ekitundu ky’Ekika kya Manase kisigala mu Gireyaadi
28 Awo Musa n’abawaako ebiragiro eri Eriyazaali kabona, n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n’eri abakulembeze b’empya ez’omu bika by’abaana ba Isirayiri. 29 Musa n’agamba nti, “Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni, buli musajja eyeetegese okutabaala mu maaso ga Mukama Katonda, bwe balisomoka nammwe Yoludaani, n’ensi eri mu maaso gammwe n’ewangulwa, kale mubawanga ensi ya Gireyaadi okubeera omugabo gw’obutaka bwabwe. 30 Naye bwe basomokanga nammwe nga tebalina byakulwanyisa, kale baligabanira wamu nammwe eby’obutaka bwabwe mu nsi ya Kanani.”
31 Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga Mukama bw’atugambye. 32 Tujja kusomokera mu maaso ga Mukama Katonda tuyingire mu nsi ya Kanani nga twesibye ebyokulwanyisa, naye omugabo gwaffe ogw’obutaka bwaffe gujja kusigala ku ludda luno olwa Yoludaani.”
33 Awo Musa n’abagabira, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w’Abamoli, n’obwakabaka bwa Ogi kabaka w’e Basani, n’abawa ensi n’ebibuga byamu, n’amatwale gaayo n’ebibuga byamu ebigyetoolodde.
34 Batabani ba Gaadi ne bazimba ebibuga bino: Diboni, ne Atalosi, ne Aloweri, 35 ne Aterosi Sofani, ne Yazeri, ne Yogubeka; 36 ne Besu Nimira, ne Besu Kalaani, nga bye bibuga ebiriko ebigo ebinywevu, ne bakola n’ebisibo by’ebisolo byabwe. 37 Batabani ba Lewubeeni ne bazimba ebibuga bino: Kesuboni, ne Ereyale, ne Kiriyasayimu, 38 ne Nebo, ne Baalu Myoni (amannya gaabyo gaakyusibwa), ne Sibima. Ebibuga bye baddaabiriza baabituuma amannya malala.
39 Abaana ba Makiri, mutabani wa Manase, ne bagenda e Gireyaadi, ensi eyo ne bagiwamba, ne bagobamu Abamoli abaagibeerangamu. 40 Bw’atyo Musa n’awa Gireyaadi, Makiri mutabani wa Manase, n’atuula omwo. 41 Yayiri mutabani wa Manase n’agenda ne yeetwalira obubuga obutonotono, n’abutuuma Kavosu Yayiri. 42 Ne Noba naye n’awamba Kenasi n’obwalo obukyetoolodde, n’akituuma Noba erinnya lye.
*32:12 Okusinziira ku Olubereberye 15:19 ne 36:11 Abakenizi baali Bakanani, era nga bazzukulu ba Esawu.