Zabbuli 2
1 Lwaki amawanga geegugunga
n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
2 Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
3 “Ka tukutule enjegere zaabwe,
era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”
4 Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
5 N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
6 N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”
7 Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:
kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
olwa leero nfuuse kitaawo.
8 Nsaba,
nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
9 Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”
10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 Muweereze Mukama nga mumutya,
era musanyuke n’okukankana.
12 Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.