Zabbuli 7
Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.
1 Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
ngobaako bonna abangigganya era omponye,
2 si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.
3 Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
era ng’engalo zange ziriko omusango,
4 obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
5 Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
bankube wansi banninnyirire,
banzitire mu nfuufu.
6 Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
Golokoka, Ayi Katonda wange,
onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
7 Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
obafuge ng’oli waggulu ennyo.
8 Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era n’amazima agali mu nze bwe gali.
9 Ayi Katonda omutukuvu,
akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
era onyweze abatuukirivu.
10 Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 Katonda mulamuzi wa mazima;
era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 Mukama awagala ekitala kye
n’aleega omutego gwe
ogw’obusaale.
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
era akozesa obusaale obw’omuliro.
14 Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
n’azaala obulimba.
15 Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
n’obukambwe bwe bumuddire.
17 Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.