Zabbuli 29
Zabbuli ya Dawudi.
Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
 
Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni* Siriyooni linnya eribbulwa mu bitundu bya Kalumooni. Kalumooni ye yali ensalo ey’omu bukiikakkono obw’ensi ensuubize ng’ennyana y’embogo.
Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
 
10  Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11  Mukama awa abantu be amaanyi;
Mukama awa abantu be emirembe.

*Zabbuli 29:6 Siriyooni linnya eribbulwa mu bitundu bya Kalumooni. Kalumooni ye yali ensalo ey’omu bukiikakkono obw’ensi ensuubize