Zabbuli 109
Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 Ayi Katonda wange gwe ntendereza,
tonsiriikirira.
2 Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
banjogeddeko eby’obulimba.
3 Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
ne bannumbagana awatali nsonga.
4 Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
kyokka nze mbasabira.
5 Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.
6 Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
wabeewo amuwawaabira.
7 Bwe banaawoza, omusango gumusinge;
n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
8 Aleme kuwangaala;
omuntu omulala amusikire.
9 Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10 Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 Amubanja ajje awambe ebibye byonna;
n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 Waleme kubaawo amusaasira,
wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 Ezzadde lye lizikirizibwe,
n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
n’ensi ebeerabirire ddala.
16 Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
ne kumutobya ng’amazzi,
ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19 Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
era abanjogerako eby’akabi ebyereere.
21 Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
nnwanirira olw’erinnya lyo;
era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22 Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
mmansuddwa eri ng’enzige.
24 Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 Abandoopaloopa bansekerera;
bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.
26 Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 Baleke bategeere nti ggwe okikoze,
n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
Leka abannumbagana baswale,
naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 Abandoopa baswazibwe,
n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.
30 Nneebazanga Mukama n’akamwa kange;
nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.
31 Kubanga alwanirira omunaku ali mu kwetaaga,
n’amuwonya abo abaagala afe.