5
Obuvunaanyizibwa bw’Abakkiriza
Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo, abakazi abakadde bayisenga ng’abazadde bo, abato nga bannyoko, ng’omutima gwo mulongoofu ddala.
Bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda. Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, essuubi lye aba alitadde mu Katonda, era anyiikire okwegayirira n’okusaba Katonda emisana n’ekiro. Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba ng’afudde, newaakubadde ng’akyali mulamu. Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa. Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
Nnamwandu awezezza emyaka enkaaga ye yekka anaawandiikibwanga ku lukalala lwa bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu, 10 nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
11 Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa, 12 bwe batyo ne bessaako omusango olw’obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. 13 N’ekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera n’ebitasaana. 14 Kyenva njagala bannamwandu abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako kibi. 15 Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani.
16 Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab’olulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba.
17 Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. 18 Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.” 19 Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. 20 Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. 21 Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza.
22 Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by’abalala; weekuumenga ng’oli mulongoofu.
23 Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olw’okulwalalwala kwo.
24 Ebibi by’abantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye eby’abalala birabika luvannyuma. 25 N’ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.