33
Manase Kabaka wa Yuda
Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi n’ebiri, n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ng’agoberera ebikolwa eby’ekivve eby’amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. N’addaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, n’azimbira ne Baali ebyoto, n’akola ne Baasera, n’asinza era n’aweereza n’eggye lyonna ery’oku ggulu. N’azimba ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.” N’azimba ebyoto eby’okusinzizangako eggye lyonna ery’oku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. N’awaayo abaana be ng’ekiweebwayo, n’abookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’akola eby’obufumu, n’alagulira mu bire, n’akola eby’obulogo, n’agendanga n’eri abaliko emizimu ne ddayimooni. N’akola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, n’asunguwaza nnyo Mukama.
N’addira ekifaananyi ekyole kye yakola, n’akiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna. Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, n’ebiragiro, n’obulombolombo bye nnawa Musa.” Naye Manase n’asendasenda Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri.
10  Mukama n’ayogera ne Manase n’abantu be, kyokka ne batassaayo mwoyo. 11  Mukama kyeyava abasindikira abaduumizi b’eggye lya kabaka w’e Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bateeka eddobo mu nnyindo ye, ne bamutwala e Babulooni nga musibe. 12 Ng’ali eyo mu nnaku ye, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. 13 N’amusaba, Mukama n’awulira okwegayirira kwe, n’amukomyawo e Yerusaalemi n’eri obwakabaka bwe. Awo Manase n’ategeera nga Mukama ye Katonda.
14 Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda. 15 N’aggyamu bakatonda abamawanga n’ekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya Mukama, n’ebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga. 16 N’addaabiriza ekyoto kya Mukama, n’aweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri. 17 Wabula abantu bo, ne beeyongera okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, nga baziwaayo eri Mukama Katonda waabwe.
18 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ng’omwo mwe muli okusaba kwe eri Mukama n’ebigambo abalabi bye baamutegeezanga mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 19 Okusaba kwe, n’okusaasira kwa Katonda gy’ali, n’ebibi bye, n’obutali bwesigwa bwe, n’ebifo ebigulumivu bye yazimba, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole bye yassaawo nga taneetoowaza, byonna byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gy’abalabi. 20 Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu lubiri lwe, Amoni mutabani we n’amusikira.
Amoni kabaka wa Yuda
21 Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka. 22 N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bwe yakola. 23 Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, Amoni n’ayongera ekibi ku kibi, n’ateetoowaza mu maaso ga Mukama.
24 Abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe ne bamuttira mu lubiri lwe. 25 Naye Abantu ab’omu nsi ne batta abo bonna abasala olukwe okutta kabaka Amoni; ne bafuula Yosiya mutabani we okuba kabaka mu kifo kye.