20
Abimereki Atwala Mukazi wa Ibulayimu
1 Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali. 2 Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala.
3 Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.” 4 Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti, “Onotta abantu abataliiko musango. 5 Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”
6 Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako. 7 Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna.”
Okwegayirira kw’Abimereki eri Ibulayimu
8 Awo Abimereki n’agolokoka mu makya ennyo n’ayita abakungu be bonna n’abategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo. 9 Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.” 10 Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?” 11 Ibulayimu n’addamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda n’akamu, era balinzita olwa mukazi wange. 12 Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange. 13 Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’ ”
14 Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we. 15 Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.”
16 N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”
17 Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana. 18 Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.