61
Amawulire Amalungi ag’Obulokozi
Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
n’abasibe bateebwe
bave mu makomera.
Okulangirira omwaka gwa Mukama
ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,
okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,
n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.
Ekyambalo ky’okutendereza
mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa
balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,
balyoke baweebwe ekitiibwa.
 
Baliddamu
bazimbe ebyali bizise,
balirongoosa ebibuga
ebyali byerabirwa edda.
Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe,
abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.
Era muyitibwe bakabona ba Mukama,
abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama,
mulirya obugagga bw’amawanga,
era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.
 
Mu kifo ky’ensonyi,
abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri.
Mu kifo ky’okuswala
basanyuke olw’ebyo bye balifuna
era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri,
essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
 
“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya,
nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu.
Mu bwesigwa bwange ndibasasula
era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga
n’abaana baabwe eri abantu.
Abo bonna abalibalaba balibamanya,
nti bantu Mukama be yawa omukisa.”
 
10 Nsanyukira nnyo mu Mukama,
emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.
Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi
era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,
ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,
ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.
11 Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera,
era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka,
bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka,
ensi zonna zikirabe.