10
1 “Obulamu bwange mbukyayidde ddala,
noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange,
njogerere mu kulumwa kw’emmeeme yange.
2 Nnaagamba Katonda nti, Tonsalira musango ne gunsinga,
ntegeeza ky’onvunaana.
3 Kikusanyusa okunnyigiriza,
okunyooma omulimu gw’emikono gyo,
n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?
4 Amaaso go ga mubiri?
Olaba ng’omuntu bw’alaba?
5 Ennaku zo zisinga ez’omuntu,
n’emyaka gyo gisinga egy’omuntu,
6 olyoke onoonye ebisobyo byange
era obuulirize ekibi kye nkoze,
7 newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango
era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo?
8 “Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola.
Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo?
9 Jjukira nti wammumba ng’ebbumba,
ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?
10 Tewanzitulula ng’amata
n’onkwasa ng’omuzigo?”
11 Tewannyambaza omubiri n’olususu,
n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta?
12 Kale wampa okuganja mu maaso go,
era walabirira, n’omwoyo gwange.
13 Naye bino wabikweka mu mutima gwo,
era mmanyi nga byali mu birowoozo byo.
14 Singa nyonoona, ondaba
era tewandindese n’otombonereza.
15 Bwe mba nga nsingibbwa omusango,
zinsanze nze!
Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange,
kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.
16 Bwe mba ng’asituka, n’onjigga ng’empologoma,
era n’onnumba n’amaanyi go amangi ennyo.
17 Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza,
era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi;
amayengo ne gajja okunnumba olutata.
18 “Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?
Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
19 Singa satondebwa,
oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.
20 Ennaku zange entono kumpi teziweddeeko?
Ndeka mbeeko n’akaseera ak’okusanyuka,
21 nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda,
ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,
22 y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba
era n’okutabukatabuka,
ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”