25
Omwaka gwa Ssabbiiti
Mukama Katonda yagamba Musa ku lusozi Sinaayi nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ensi yennyini eneekuumiranga Mukama Katonda ssabbiiti. Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe n’ebibala ne mubikungula. Naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka ly’ensi eyo linaabanga ne ssabbiiti ey’okuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe. Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka ly’ensi linaaguwummulanga. Ebyo byonna ebyokulya ebinaavanga mu ttaka mu mwaka ogwa ssabbiiti yaalyo binaabanga mmere yammwe, mmwe bennyini, n’eri abaddu bammwe abasajja, n’abakazi, era n’abaweereza bammwe ab’empeera, n’abagenyi abanaabanga basula mu maka gammwe; era n’ente zammwe n’ensolo ez’omu nsiko ezinaabanga ku ttaka lyammwe. Buli ekyokulya ekinaakuliranga ku ttaka eryo kinaabanga mmere.
Omwaka ogw’Okujaguza Jjubiri
“Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ez’omu myaka, kwe kugamba nti musanvu emirundi emyaka musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda. Ekkondeere ery’okujaguza munaalifuuyiranga wonna wonna ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu ku Lunaku olw’Okutangiririrwa, ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe yonna. 10 Munaatukuzanga omwaka ogw’amakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera eby’eddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri* Jjubiri kitegeeza buwanguzi gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye. 11 Omwaka ogw’amakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala eby’oku mizabbibu egitali misalire. 12 Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubiri era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo byokka bye munaggyanga mu nnimiro.
13 “Mu mwaka ogwo ogw’okujaguza ogwa Jjubiri buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini. 14 Era bwe munaatunzanga bannammwe ekintu kyonna oba bwe munaagulanga ku bannammwe ekintu kyonna, temuseeragananga. 15 Munnansi munno onoomugulangako ng’osinziira ku myaka egyakayitawo okuva ku kujaguza ku Jjubiri. Era naye anaakutunzanga ng’asinziira ku myaka egibulayo okutuuka ku makungula g’ebibala. 16 Emyaka bwe ginaabanga emingi, omuwendo ogulamulwa munaagwongezanga, naye emyaka bwe ginaabanga emitono munaagukendeezanga, kubanga obungi bw’ebikungulwa, bw’ogula ku mutunzi. 17 Temuseeragananga; mutyanga Katonda wammwe, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.
18 “Mugonderenga ebiragiro byange, era mukwatenga amateeka gange, bwe mutyo munaatuulanga n’emirembe mu nsi yammwe. 19 Ensi eneebaleeteranga ebibala byayo, ne mulya ne mukkuta ne mutuulamu n’emirembe. 20 Muyinza okubuuza nti, ‘Bwe tutaasigenga era ne tutakungulanga, kale mu mwaka ogw’omusanvu tunaalyanga ki?’ 21 Mu mwaka ogw’omukaaga ndibayiwako omukisa gwange ogulireetera ensi yammwe ebibala ebirimala emyaka esatu. 22 Bwe munaabanga musiga mu mwaka ogw’omunaana, munaabanga mulya ku bibala ebikadde bye mwatereka, okutuusa nga mukungudde ebibala eby’omwaka ogw’omwenda. 23 Ettaka teriitundibwenga kagenderere, kubanga ensi yange; mwe muli bayise era abasuze obusuze. 24 Buli kitundu kya nsi kye munaalyanga, bwe mutundanga ettaka mwerekerangawo omwagaanya ogw’okulinunulayo gye mulitunze.
Okununula Ebintu
25 “Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga, n’atunda ebimu ku bintu bye, muganda we ow’okumpi mu luganda anajjanga n’anunula ebyo munnansi munne by’atunze. 26 Omuntu bw’anaabanga talina anaabimununulira, naye ye ku bubwe ng’agaggawadde, era ng’afunye obusobozi obw’okubinunula, 27 anaabaliriranga omuwendo gw’ensimbi oguli mu myaka kasookedde abitunda, n’abala n’omuwendo ogugya mu myaka egisigaddeyo okutuuka ku Jjubiri, n’agusasula omuntu gwe yaguza ebintu ebyo, olwo eyatunda aneddirangayo mu bintu bye. 28 Naye singa alemwa okufuna obusobozi okumusasula, kale ebyo bye yatunda binaasigalanga mu mukono gw’eyabigula nga ye nannyini byo okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. Binamuddizibwanga mu Jjubiri, era anaayinzanga okweddirayo mu bintu bye.
29 “Omuntu bw’anaatundanga ennyumba esulwamu eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe, anaayinzanga okuginunula mu mwaka nga tegunaggwaako. Mu bbanga eryo ery’omwaka omulamba mw’anaabeereranga n’obuyinza obw’okuginunula. 30 Ennyumba eyo eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe bw’eteenunulibwenga mu bbanga ery’omwaka ogumu, kale eneebeereranga ddala y’oyo eyagigula n’ezzadde lye. Eyagitunda teemuddizibwenga mu Jjubiri. 31 Naye amayumba ag’omu bubuga obutono obw’omu byalo obuteetooloddwako bisenge, ganaabalirwanga mu ttuluba lye limu n’ery’ennimiro eziri mu byalo. Ganaanunulibwanga era ne gaddira bannyinigo mu Jjubiri.
32 “Bulijjo Abaleevi banaabanga ba ddembe okununula amayumba gaabwe agali mu bibuga byabwe eby’Abaleevi bye balinako obwannannyini. 33 Era Omuleevi bw’anaabanga takozesezza ddembe lye ery’okununula, kale ennyumba eyatundirwa mu kibuga Abaleevi kye balinako obwannannyini, eneemuddiranga mu Jjubiri; kubanga mu bantu ba Isirayiri ennyumba eziri mu bibuga by’Abaleevi za Baleevi. 34 Naye ennimiro eziri ku ttaka lya wamu ery’ebibuga byabwe teziitundibwenga; kubanga ezo zaabwe za bwannannyini obw’olubeerera.
Etteeka ery’Okuwola Ensimbi
35 “Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe. 36 Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe. 37 Bw’omuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gw’omuwoze so tasukkirizangamu. Era bw’omuguzanga emmere tossangamu magoba. 38 Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri okubawa ensi ya Kanani n’okubeera Katonda wammwe.
Okununula Abaddu
39 “Era munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu. 40 Munaamukozesanga ng’omupakasi ow’empeera oba ng’omusuze obusuze, ng’ali nammwe. Anaabaweerezanga okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. 41 Kale nno, olwo anaalekebwanga n’addayo ewaabwe, ye n’abaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be. 42 Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi y’e Misiri; tebaatundibwenga ng’abaddu. 43 Temubafugisanga bukambwe, naye mutyenga Katonda wammwe. 44 Abaddu bammwe abasajja n’abaddu bammwe abakazi munaabaggyanga mu mawanga agabeetoolodde, mu mawanga ago mwe muneeguliranga abaddu abasajja n’abaddu abakazi. 45 Era munaayinzanga okwegulira ku bannamawanga abali nammwe abasuze obusuze, ne ku baana baabwe abanaazaalirwanga mu nsi yammwe; abo banaabanga nvuma zammwe. 46 Munaayinzanga okulaamira batabani bammwe abalibagoberera envuma ezo ng’obusika bwabwe obw’emirembe gyonna. Naye Bayisirayiri bannammwe temubafugisanga bukambwe.
47 “Omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali nammwe bw’anaagaggawalanga, naye munnansi munnammwe bwe babeera n’ayavuwala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba eri omusuze obusuze ali nammwe, oba eri omu ku b’omu luggya lwa munnaggwanga, 48 anaayinzanga okununulibwa, ng’amaze okwetunda. Omu ku baganda be anayinzanga okumununula: 49 Taata we oba mutabani wa taata we, oba owooluganda omulala ow’okumpi mu buzaale ow’omu kika kye anaayinzanga okumununula. Oba ye bw’anaagaggawalanga anaayinzanga okwenunula. 50 Ye n’oli eyamugula bajjanga kubalirira ebbanga okuva mu mwaka gwe yeetundiramu okutuuka ku Mwaka gwa Jjubiri. Omuwendo ogw’okununulibwa guneesigamizibwanga ku muwendo gw’emyaka egibaliriddwa; ebbanga lye yamala n’eyamugula linaageraageranyizibwanga n’ebbanga ery’omupakasi asasulwa empeera. 51 Mu kubalirira kwabwe bwe kinaazuukanga ng’ekyasigaddeyo emyaka mingi okutuuka ku Jjubiri, ku muwendo gwe yeetunda anaasasulangako omuwendo munene olw’okwenunula. 52 Naye bw’eneebanga esigaddeyo emyaka mitono, egyo gy’anaabalirirangamu ensimbi zaamu n’asasula ezo nga bwe kyetaagisa olw’okwenunula. 53 Oyo eyagula munne anaamuyisanga ng’omupakasi amukolera mu kupatana okwa buli mwaka. Temulekanga oyo eyagula munne okumutuntuzanga nga nammwe mulaba.
54 “Bw’anaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye n’abaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri. 55 Kubanga abaana ba Isirayiri bantu bange, abaweereza bange be naggya mu nsi ey’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.

*25:10 Jjubiri kitegeeza buwanguzi