5
Nekkemiya Ayamba Abaavu
1 Awo ekibinja ky’abasajja ne bakazi baabwe ne bakaayana nnyo olwa baganda baabwe Abayudaaya. 2 Abamu ku bo ne boogera nti, “Ffe, ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi nnyo, tulina okufuna eŋŋaano ey’okulya okutubeezaawo nga tuli balamu.”
3 Abamu ne boogera nti, “Twasingawo ebibanja byaffe, n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu n’amaka gaffe tuleme okufa enjala mu kyeya.” 4 N’abalala ne boogera nti, “Twewola sente okusobola okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ez’emizabbibu. 5 Newaakubadde nga tuli omusaayi gumu ne baganda baffe, n’abaana baffe baana baabwe, kyatuleetera okuwaliriza batabani baffe ne bawala baffe okubawaayo mu buddu. Abamu ku bawala baffe twali twabawaayo dda mu busibe; kaakano tetusobola kununula bibanja byaffe ebyo kubanga abantu abalala baabitwala awamu n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu.”
6 Bwe nawulira okukaaba kwabwe n’ebigambo ebyo ne nsunguwala nnyo. 7 Ne mbirowoozaako, ne nnenya abakungu n’abafuzi. Ne mbagamba nti, “Muggya omusolo ku baganda bammwe ne mukola amagoba!” Kyennava mpita olukuŋŋaana olunene okugonjoola ensonga ezo, 8 ne mbagamba nti, “Twakola kye tusobola okununula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga, naye mmwe mutunda baganda bammwe, ffe ne tubagula okuva ku be mubaguzizza!” Ne basiriikirira, kubanga tebaalina kyakuddamu.
9 Ne nyongera okubagamba nti, “Kye mukola si kirungi. Tekibagwanidde okutambula nga mutya Katonda waffe, okwewala okuswala mu maaso g’abalabe baffe, bannamawanga? 10 Nze, baganda bange ne basajja bange, tuwola abantu ensimbi n’emmere ey’empeke, naye ekigambo ky’okuggya omusolo ku bantu nga kuliko amagoba kikome. 11 Mubaddize leero ebibanja byabwe, n’ennimiro zaabwe ez’emizabbibu, n’ez’emizeeyituuni, n’ennyumba zaabwe, ne ku misolo gye mu bawooza, mubaddize kimu kya kikumi ku nsimbi, ne ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya ne ku mafuta.”
12 Awo ne baddamu nti, “Tulibibaddiza, so tetuliddayo kubasaba kintu kyonna. Tunaakola nga bw’olagidde.”
Kyennava mpita bakabona ne ndayiza abakungu n’abakulembeze okukola ebyo bye baasuubiza. 13 Ne nkunkumula ne nsawo ez’ekyambalo kyange ne njogera nti, “Mukama Katonda akole bw’atyo ennyumba y’omuntu oyo, n’eby’obugagga bwe abimuggyeko, ataakole nga bw’asuubizza. Omuntu oyo akunkumulibwe bw’atyo aleme okusigaza ekintu!”
Olukuŋŋaana lwonna ne baddamu nti, “Amiina, era Mukama yeebazibwe.” Abantu ne bakola nga bwe baasuubiza.
14 Ate era okuva mu kiseera mwe nalondebwa okuba owessaza w’ensi ya Yuda, mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugizi okutuuka ku mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri, gy’emyaka ekkumi n’ebiri, nze newaakubadde baganda bange tetwalya ku mmere eyatugerekebwa, eyali eteekwa okuba ey’owessaza. 15 Naye abessaza abansooka baazitoowerezanga abantu, nga babawooza ekitundu kya kilo eya ffeeza, ne bagattako emmere ne wayini. Naye nze si bwe nakolanga, olw’okutya Katonda. 16 Ne mmalirira okukola omulimu ku bbugwe oyo, nze n’abasajja bange bonna ne twewaayo okukola ne tutadda mu kululunkanira ttaka.
17 Abantu kikumi mu ataano, Abayudaaya abaabulijjo n’abakulu, be baaliranga awamu nange ku mmeeza, okwo nga kw’otadde n’abaava mu mawanga agaatuliraananga. 18 Buli lunaku ente emu, n’endiga ensava mukaaga n’enkoko nga tezibuzeeko bye byantegekerwanga, ne buli nnaku kkumi ne nfunanga wayini owa buli kika. Wakati mu ebyo byonna saasaba mmere eyali eteekwa okuweebwa owessaza, kubanga abantu baandizitoowereddwa nnyo.
19 Nzijukira Ayi Katonda wange, olw’ebyo byonna bye nkoledde abantu bano.