7
1 Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga n’enzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, n’abayimbi, n’Abaleevi nga bamaze okulondebwa, 2 ne ndyoka nonda muganda wange Kanani awamu ne Kananiya omuduumizi w’ekigo okuvunaanyizibwanga Yerusaalemi, kubanga Kananiya yali yeesigika, ate ng’atya Katonda okusinga abantu abalala bangi. 3 Ne mbagamba nti, “Emiryango gya Yerusaalemi tegiteekwa kuggulwawo okutuusa ng’omusana tegunnakaalama nnyo. Abakuumi nga bakyali ku miryango, muggaleewo muginywereze ddala. Mu batuuze ba Yerusaalemi, mulondemu abanaakuumanga, abamu ku bo bakuumenga mu mpalo n’abalala bakuumenga ebifo ebiriraanye ennyumba zaabwe.”
Amannya g’Abaawaŋŋangusibwa Abaakomawo
4 Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga n’ennyumba tezinnaddaabirizibwa. 5 Awo Katonda wange nannumiriza, okuyita abakungu n’abakulembeze, n’abantu abaabulijjo okujja okwewandiisa ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali. Ne ndaba ekitabo ekyalimu ennyiriri zaabo abaasooka okudda, ne nsangamu amannya gano:
6 Bano be bantu ab’omu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe. 7 Bajja ne Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Azaliya, ne Laamiya, ne Nakamani, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misuperesi, ne Biguvaayi, ne Nekumu ne Baana.
Gano ge mannya g’Abasajja ba Isirayiri:
8 bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),
9 bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri (372),
10 bazzukulu ba Ala baali lukaaga mu ataano mu babiri (652),
11 bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana (2,818),
12 bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
13 bazzukulu ba Zattu baali lunaana mu ana mu bataano (845),
14 bazzukulu ba Zakkayi baali lusanvu mu nkaaga (760),
15 bazzukulu ba Binnuyi baali lukaaga mu ana mu munaana (648),
16 bazzukulu ba Bebayi baali lukaaga mu abiri mu munaana (628),
17 bazzukulu ba Azugaadi baali enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322),
18 bazzukulu ba Adonikamu baali lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667),
19 bazzukulu ba Biguvaayi baali enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067),
20 bazzukulu ba Adini baali lukaaga mu ataano mu bataano (655),
21 bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya baali kyenda mu munaana (98),
22 bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana (328),
23 bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana (324),
24 bazzukulu ba Kalifu baali kikumi mu kumi na babiri (112),
25 bazzukulu ba Gibyoni baali kyenda mu bataano (95).
26 Abaava e Besirekemu n’e Netofa baali kikumi mu kinaana mu munaana (188),
27 ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana (128),
28 ab’e Besuwazumavesi baali amakumi ana mu babiri (42),
29 ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu (743),
30 ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),
31 ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),
32 ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu (123),
33 ab’e Nebo ekyokubiri baali amakumi ataano mu babiri (52),
34 ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
35 ab’e Kalimu baali bisatu mu abiri (320),
36 ab’e Yeriko baali bisatu mu ana mu bataano (345),
37 ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu (721),
38 n’ab’e Sena baali enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930).
39 Bano be bakabona:
bazzukulu ba Yedaya ow’olunnyiriri lwa Yesuwa baali lwenda mu nsavu mu basatu (973),
40 bazzukulu ba Immeri baali lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),
41 bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247),
42 ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
43 Ne bano be Baleevi:
bazzukulu ba Yesuwa ow’olunnyiriri lwa Kadumyeri mu nda ya Kodeva baali nsavu mu bana (74).
44 Abayimbi:
bazzukulu ba Asafu baali kikumi mu amakumi ana mu munaana (148).
45 Abaakuumanga wankaaki baali:
bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138).
46 Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano:
bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
47 bazzukulu ba Keriso, bazzukulu ba Siya, bazzukulu ba Padoni,
48 bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Samulaayi,
49 bazzukulu ba Kanani, bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali,
50 bazzukulu ba Leyaya, bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda,
51 bazzukulu ba Gazzamu, bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya,
52 bazzukulu ba Besayi, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
53 bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
54 bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
55 bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
56 bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
57 Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani be bano:
bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Soferesi, bazzukulu ba Perida,
58 bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
59 bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri,
bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Amoni.
60 Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali bisatu mu kyenda mu babiri (392).
61 Bano wammanga be baava mu bibuga eby’e Temmeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga lulyo lwabwe newaakubadde ensibuko gye baava, nti Bayisirayiri:
62 bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali lukaaga mu amakumi ana mu babiri (642).
63 Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya,
bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi, eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, era n’atuumibwa erinnya eryo.
64 Abo waggulu ne banoonya amannya gaabwe mu biwandiiko naye nga tegaliimu, kyebaava baziyizibwa okubeera bakabona nga bayitibwa abatali balongoofu. 65 Era owessaza n’abagaana okulya ku bintu ebitukuvu, okutuusa nga kabona alina Ulimu ne Sumimu azze.
66 Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360), 67 obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245). 68 Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245), 69 n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
70 Abamu ku bakulu b’obusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana n’awaayo, kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebbensani amakumi ataano (50), n’ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu (530) mu ggwanika. 71 Abamu ku bakulu b’obusolya ne baawaayo kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’obutundu bubiri obwa ffeeza mu ggwanika, olw’omulimu ogwali gukolebwa. 72 Omuwendo gwonna awamu ogwawebwayo abantu abalala gwali kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’akatundu kamu aka ffeeza, n’ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.
73 Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe.
Ezera Asoma Etteeka
Awo mu mwezi ogw’omusanvu,