11
Abatuuze Abapya aba Yerusaalemi
1 Abakulembeze b’abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi, abantu abalala ne bakuba akalulu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okugenda okubeera mu Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu; omwenda bo ne basigala mu byalo byabwe. 2 Abantu ne beebaza abo bonna abeewaayo okubeera mu Yerusaalemi.
3 Bano be bakungu b’amasaza abaasenga mu Yerusaalemi: Abayisirayiri abamu, nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, n’abaweereza ab’omu yeekaalu, ne bazzukulu ba baddu ba Sulemaani; buli omu yabeeranga ku ttaka lye mu kibanja kye. 4 Mu Yerusaalemi mwabeerangamu abamu ku bazzukulu ba Yuda, n’abamu ku bantu abaava mu Benyamini.
Bazzukulu ba Yuda abaasenga eyo be bano:
Ataya mutabani wa Uzziya, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Sefatiya, muzzukulu wa Makalaleri, ow’omu lulyo lwa Pereezi;
5 ne Maaseya mutabani wa Baluki, muzzukulu wa Kolukoze, muzzukulu wa Kazaya, muzzukulu wa Adaya, muzzukulu wa Yoyalibu, muzzukulu wa Zekkaliya, ow’omu lulyo lwa Siiro.
6 Bazzukulu ba Pereezi abaasenga mu Yerusaalemi baawerera ddala abasajja ebikumi bina mu nkaaga mu munaana (468), abaali abalwanyi abazira.
7 Bazzukulu ba Benyamini abaasenga eyo be bano:
Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Yowedi, muzzukulu wa Pedaya, muzzukulu wa Kolaya, muzzukulu wa Maaseya, muzzukulu wa Isiyeri, muzzukulu wa Yesaya; 8 n’abagoberezi be Gabbayi ne Sallayi, bonna ne bawera abasajja lwenda mu abiri mu munaana (928). 9 Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa nga ye mukulu w’Ekitundu Ekyokubiri eky’ekibuga.
10 Bakabona baali:
Yedaya mutabani wa Yoyalibu, ne Yakini, 11 ne Seraya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akitubu, alabirira ennyumba ya Katonda, 12 ne baganda baabwe abaakolanga emirimu mu yeekaalu, be basajja lunaana mu abiri mu babiri (822); Adaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Peraliya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, 13 ne baganda be, abaali abakulu b’ennyumba; abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri (242); Amasusaayi mutabani wa Azaleri, muzzukulu wa Azayi, muzzukulu wa Mesiremoosi, muzzukulu wa Immeri, 14 ne baganda be, abaali abalwanyi abazira; abasajja kikumi mu abiri mu munaana (128). Omukulu waabwe ye yali Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu.
15 Abaleevi baali:
Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Bunni;
16 Sabbesayi ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, abaavunaanyizibwanga emirimu egy’ebweru egy’ennyumba ya Katonda;
17 Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zabudi muzzukulu wa Asafu, eyakulemberanga okwebaza mu kiseera eky’okusaba;
Bakubukiya omumyuka we mu baganda be;
ne Abuda mutabani wa Sammuwa, muzzukulu wa Galali, ate muzzukulu wa Yedusuni.
18 Abaleevi abaabeeranga mu kibuga ekitukuvu bonna awamu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana (284).
19 Abakuumi b’emiryango baali:
Akkubu, ne Talumoni ne baganda baabwe; abaakuumanga emiryango nga bawera abasajja kikumi mu nsanvu mu babiri (172).
20 Abayisirayiri abalala bonna, awamu ne bakabona, n’Abaleevi, baabeeranga mu byalo byonna ebya Yuda, buli muntu ng’ali ku butaka bwe.
21 Naye abaweereza ba yeekaalu baabeeranga ku lusozi Oferi, era Zika ne Gisupa be baali abakulu baabwe.
22 Omukulu w’Abaleevi mu Yerusaalemi yali Uzzi mutabani wa Baani, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Mattaniya, era muzzukulu wa Mikka. Ate era Uzzi yali omu ku bazzukulu ba Asafu, abaakulemberanga okuyimba mu nnyumba ya Katonda. 23 Abayimbi baakoleranga ku biragiro bya kabaka, nga buli lunaku bwe lwetaaganga.
24 Pesakiya mutabani wa Mesezaberi, omu ku bazzukulu ba Zeera mutabani wa Yuda, ye yali omusigire wa Kabaka, ku nsonga zonna ez’abantu.
25 Abantu abamu aba Yuda baabeeranga mu Kirasualuba n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Diboni n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Yekabuzeeri n’ebyalo ebikyetoolodde, 26 n’abalala mu Yesuwa, n’abalala mu Molada n’abalala mu Besupereti, 27 n’abalala mu Kazalusuwali, n’abalala mu Beeruseba n’ebyalo ebikyetoolodde, 28 n’abalala mu Zikulagi, n’abalala mu Mekona n’ebyalo ebikyetoolodde 29 n’abalala mu Enulimmoni, n’abalala mu Zola, n’abalala mu Yalamusi, 30 n’abalala mu Zonowa, n’abalala mu Adulamu n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Lakisi n’ennimiro ezikyetoolodde, n’abalala mu Azeka n’ebyalo ebikyetoolodde. Ne basiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu.
31 Bazzukulu ba Benyamini abaava e Geba baabeeranga mu Mikumasi, ne mu Ayiya, ne mu Beseri n’ebyalo ebikyetoolodde, 32 ne mu Anasosi, ne mu Nobu, ne mu Ananiya, 33 ne mu Kazoli, ne mu Laama, ne mu Gittayimu, 34 ne mu Kadidi, ne mu Zeboyimu, ne mu Neballati, 35 ne mu Loodi ne mu Ono, ne mu kiwonvu kya babumbi.
36 Abamu ku b’omu bibinja by’Abaleevi aba Yuda, ne beegatta ku b’omu Benyamini.