* Kiyinza okuba nga Zabbuli 9 ne 10 zaali kitontome kimu, kubanga mu kukyusa okwasookera ddala ziwandiikibbwa nga Zabbuli emu
Zabbuli 9
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
 
Abalabe bange bazzeeyo emabega,
beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
Abalabe obamaliddewo ddala,
n’ebibuga byabwe obizikirizza,
era tewali aliddayo kubijjukira.
 
Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
Aliramula ensi mu butuukirivu,
era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
 
11 Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 Ajjukira n’awoolera eggwanga
era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.
 
13 Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
onzigye ku miryango gy’okufa.
14 Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
mu miryango Ensonga enkulu zonna zaateesebwangako mu mulyango gw’ekibuga. gy’omuwala wa Sayuuni:
era njagulizenga mu bulokozi bwo.
 
15 Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16  Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 Ababi balisuulibwa emagombe;
ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.
 
19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

*^ Kiyinza okuba nga Zabbuli 9 ne 10 zaali kitontome kimu, kubanga mu kukyusa okwasookera ddala ziwandiikibbwa nga Zabbuli emu

Zabbuli 9:14 Ensonga enkulu zonna zaateesebwangako mu mulyango gw’ekibuga.