Zabbuli 92
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.
Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.
 
Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
Omuntu atalina magezi tamanyi;
n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
 
Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.
 
Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
abalabe bo balizikirira,
abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
n’onfukako amafuta amalungi.
11 Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.
 
12 Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.