Zabbuli. 5. Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi. Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama; olowooze ku kunyolwa kwange. Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange, Ayi Kabaka wange era Katonda wange: kubanga ggwe gwe nsaba. Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu. Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi: n’ebitasaana tobigumiikiriza. Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go: kubanga okyawa abakola ebibi bonna. Abalimba bonna obazikiriza; Mukama akyawa abatemu era n’abalimba. Naye olw’ekisa kyo ekingi, nze nnaayingiranga mu nnyumba yo: ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu n’okutya okungi. Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo, olw’abalabe bange, ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu. Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa; emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere. Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde: akamwa kaabwe koogera bya bulimba. Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda; baleke bagwe mu mitego gyabwe. Bagobe kubanga baakujeemera. Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga; ennaku zonna bayimbenga n’essanyu, obakuumenga, abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe. Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa; era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.