Zabbuli. 93. Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. Mukama ayambadde ekitiibwa era yeesibye amaanyi. Ensi yanywezebwa; teyinza kunyeenyezebwa. Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda. Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe. Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama; ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo, n’amazzi g’ennyanja gayira. Mukama, Ali Waggulu Ennyo, oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi; oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja. Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu, n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo, ennaku zonna.