Zabbuli. 101. Zabbuli ya Dawudi. Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo; nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama. Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu, naye olijja ddi gye ndi? Nnaabeeranga mu nnyumba yange nga siriiko kya kunenyezebwa. Sijjanga kwereetereza kintu kyonna ekibi. Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo; sijjanga kubyeteekako. Sijjanga kuba mukuusa; ekibi nnaakyewaliranga ddala. Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama, nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala sijja kubigumiikirizanga. Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga, balyoke babeerenga nange; akola eby’obutuukirivu y’anamperezanga. Atayogera mazima taabeerenga mu nnyumba yange. Omuntu alimba sirimuganya kwongera kubeera nange. Buli nkya nnaazikirizanga abakola ebibi bonna mu nsi, bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala mu kibuga kya Mukama.