Zabbuli. 121. Oluyimba nga balinnya amadaala. Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa? Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi. Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga. Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga. Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo; emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro. Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo. Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.