Zabbuli. 124. Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Isirayiri agamba nti, singa Katonda teyali ku ludda lwaffe, singa Katonda teyali ku ludda lwaffe abalabe baffe bwe baatulumba, banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera, obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako. Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo, ne mukoka n’atukulukutirako; amazzi ag’obusungu bwabwe agayira ganditukuluggusizza. Mukama atenderezebwe atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe. Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva ku mutego gw’abatezi; omutego gukutuse, naffe tuwonye! Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, eyakola eggulu n’ensi.