Zabbuli. 150. Mutendereze Mukama! Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu; mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi. Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge; mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde. Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere, mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere. Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina; mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere! Mumutendereze nga mukuba ebitaasa; mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo! Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama! Mutendereze Mukama.