17
1 Omutima gwange gwennyise,
ennaku zange zisalibbwaako,
entaana enninze.
2 Ddala abansekerera bannetoolodde;
amaaso gange gabeekengera.
3 “Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba.
Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
4 Ozibye emitima gyabwe obutategeera;
noolwekyo toobakkirize kuwangula.
5 Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera
alireetera amaaso g’abaana be okuziba.
6 “Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
7 Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala;
omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
8 Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino;
atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
9 Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe,
n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.
10 “Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje,
naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11 Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese,
era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12 Abantu bano ekiro bakifuula emisana;
mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13 Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14 ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’
era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15 kale essuubi lyange liba ludda wa?
Ani ayinza okuliraba?
16 Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe
Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”