18
Birudaadi Ayanukula
1 Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,
2 “Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?
Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
3 Lwaki tutwalibwa ng’ente
era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
4 Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?
5 “Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
6 Ekitangaala kivudde mu weema ye;
n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
7 Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
era enkwe ze, ze zimusuula.
8 Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
era n’atangatanga mu butimba.
9 Omutego gumukwata ekisinziiro;
akamasu ne kamunyweeza.
10 Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 Entiisa emukanga enjuuyi zonna
era n’emugoba kigere ku kigere.
12 Emitawaana gimwesunga;
ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 Kirya ebitundu by’olususu lwe;
omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 Emirandira gye gikala wansi,
n’amatabi ge gakala waggulu.
17 Ekijjukizo kye kibula ku nsi;
talina linnya mu nsi.
18 Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
n’aggyibwa mu nsi.
19 Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
newaakubadde ekifo mwabeera.
20 Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”